Edgars Youth Program ewangudde ez'abato

By Samson Ssemakadde

Edgars Youth Program ewangudde ttiimu 22 n'esitukira mu kikopo ky'abato

Edgarsweb 350x210

U9; Volf Bayern Soccer Academy   2-1 Soccer Stars Football Academy

U13; Volf Bayern Soccer Academy 1-3 Washington Soccer Academy

U16; Teletubbies Soccer Academy 0-2 Edgars Youth Program

ESSUUBI ly’omutegesi okuberako n’ekikopo ky’asitukiramu lyamuweddemu, ttiimu y’akulira emirimu mu FUFA, Edgar Watson, bwe yamuwangudde ggoolo 2-0.

Empaka zino, eza 'Teletubbies Kids League',  zaabadde za nnaku biri ku kisaawe kya FC Bayern Uganda e Munyonyo, nga mwetabiddwamu  ttiimu 22 ku mitendera  egy’enjawulo okuli,  ogw’abali wansi w’emyaka mwenda (U9), U13 ne U16.

Abategesi aba Teletubbies baaleese ttiimu nnya’ eya U9, bbiri ezaU13  n’eya U16. Ttiimu essatu bwe zaawanduse, essuubi ne baliteeka mu ya U16, kyokka nayo Edgars Youth Program n’ebakubirayo ggoolo 2-0. Ggoolo zino zaatebeddwa Baila Katende ne Alex Kakooza.

Mu fayinolo endala, Volf Bayern  yawangudde ekya U9 bwe yakubye Soccer Stars ey’omu Kisenyi ggoolo 2-1, kyokka ate mu za U13 Washington n'emukuba 3-1.