UCU yeesozze 'quarter' ya liigi ya yunivasite

By Musasi wa Bukedde

UCU yeesozze 'quarter' ya yunivasite bw'ewuttudde Kumi ggoolo 5-0

Ucuweb 350x210

Egyazannyiddwa mu Pepsi  University League

UCU 5-0 Kumi

UMU 0-1 IUIU

TTIIMU ya UCU eraze eryanyi nga yeesogga ‘quarter’ y’empaka za Pepsi University League, bw’ewuttudde Kumi ggoolo 5-0.

Omutendesi wa UCU, Jimmy Kintu agamba nti tagenda kuweera okutuuka ng’ekikopo kya sizoni eno kibali mu ttaano.

James Ssemambo, Eric Wadribo, John Musasizi, Francis Julua, Rogers Kalinda be baateebedde UCU.

UCU kati yeenywerezza ku ntikko y’ekibinja A n’obubonero 12 mu mipiira 4,  Bugema mu kyokubiri erina  6, Kumi (1) ate  Gulu terinaayo.

Ku Lwokubiri KU ekyaza  SLAU ku  Villa Park.

(Gerald Kikulwe)