Awangudde eza pool n'awera

By Silvano Kibuuka

Omuzannyi wa pool olw'esozze empaka za ligyoni n'awera nga bw'agenda okusitukira mu mmotoka ya Nile Special, mu mpaka za 'Nile Special National Open Pool Championships

Bondeweb 350x210

Omuzannyi wa pool, Fred Namanya amanyiddwa nga Bonde alaze nga bw’ayagala okusitukira mu kapyata ya kkampuni ya Nile Special, bw’awangudde oluzannya olusooka mu z’okusunsulamu abanaazannya ez’akamalirizo eza Nile Special National Open Pool Championships.

Namanya, azannyira kiraabu ya Hot Pool e Ntinda, yavuganyirizza ku baala ya Kamu Kamu  e Salaama, n’awera nga bw’alina okuddayo e Lugogo  okuvuganyiza mmotoka ya Nile Special.

Omwaka oguwedde Namanya yali mu bakafulu omunaana abataazannya za kusunsulamu, wabula omwaka guno ffoomu yasse, ng’alina okuvuganya okuva wansi.

“Njagala kuwangula ku mmotoka kubanga we nnawangulira empaka zino mu 2009 baali tebanagiteekawo,” Namanya bwe yategeezezza. Omwaka oguwedde yamalira ku ‘quarter’.

Abazannyi abalala nga Allan Katongole owa kiraabu ya Capital Night ne Charles Ssegawa owa Hot Pool, baawandukidde ku luzannya olusooka.

Ate mu nsitaano eyabadde ku Vox Lounge e Makindye, abazannyi munaana okuli; Martin Ssenyonjo, Moses Ssesanga, Bashir Nsubuga, Kranimer Kibirige, Randy Kayongo, Henry Kalyango, Augustine Kamulegeya ne Emmanuel Kabaaya be baayiseemu okwesogga oluzannya lwa ligyoni.