Crested Cranes ewangudde e South Afrika

By Stephen Mayamba

Crested Cranes ewangudde omupiira gwaayo ogusoose mu mpaka za COSAFA Women Championships e South Afrika

Ugandaswaziland1 350x210

Botswana  2-0 Malawi

Swaziland 3-4 Uganda

Crested Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi, ewangudde Swaziland ggoolo 4-3 mu mpaka za 'COSAFA Women Championship 2018', ezitandise leero (Lwakusatu) e South Afrika.

Wabula Uganda omupiira yagumaliddeko ku bunkenke oluvannyuma lw'okugukulembera ne ggoolo 3 kyokka Swaziland n'egiva emabega n'egiyunga.

Omutendesi wa Crested Cranes, Faridah Bulega, yagambye nti mu kutendekebwa okuddako nga beetegekera Namibia  Lwomukaaga, essira egenda kulissa mu kisenge.

Mu kiseera kye kimu, abazannyi okuli; Shadia Nankya, Grace Aluka, Aisha Namukisa, Lilian Mutuuzo, Juliet Nalukenge ne Shamira Nalugya beegasse ku ttiimu ng'omupiira guno gw'akaggwa mu kibuga ky’e Port Elizabeth.

Bano Tebaasobola kutambula na bannaabwe oluvannyuma lw'okummibwa viza nga tebalina  bbaluwa okuva mu bazadde baabwe, ate nga tebannaweza myaka 18.