Eya Morocco ekansizza Kaliisa

By Musasi wa Bukedde

OMUTEEBI wa Uganda Cranes ne SC Vipers Milton Kaliisa akamirwa bina oluvannyuma lwa ttiimu ya Mouloudia D’oujda Club eya Morocco okumukansa ku ndagaano ya myaka ebiri.

Kaliisawakatinabakungubamouloudiaclubeyamorocco3 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Kaliisa 23, eyeegatta ku SC Vipers mu Kadirisa ka January omwaka oguwedde(2017) kati afuuse omuzannyi munnayuganda owokubiri okwegatta ku liigi y’e Morocco eyokuntikko (Botola Maroc Telecom League) oluvannyuma lwa Muhammed Shaban eyali mu KCCA FC okwegatta ku Raja Casablanca omwezi oguwedde.

Kaliisa ajjukirwa okuteekawo likodi y’omuzannyi eyasooka okuteeba ggoolo mu kisaawe kya St.Mary’s Kitende nga kiggulwawo SC Vipers bwe yakyaza Platinum Stars eya South Africa mu za CAF n’egiwangula ggoolo 1-0 era sizoni ewedde yasobala okubawangulira e kikopo kya Liigi y’eggwanga ng’abateebedde ggoolo 12.

Kaliisa kati yeegasse ku ttiimu ey’okuna bukya atandika kuzannya mupiira oluvannyuma lw’okuzannyirako JMC,BUL FC ne SC Vipers.