KIU Titans ne City Oilers zeepikira semi za nsero

By Musasi wa Bukedde

OLUVANNYUMA lwa KIU Titans okumegga UCU Canono ku mutendera gwa “Quarter” Fayinolo,akalulu ka Semi fayinolo kaagisudde ku City Oilers bwe batalima kambugu mu liigi ya Basketball.

Sudiulangaowakiungayitakustevenomonyneethiennekazungu 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Egyazannyiddwa

KIU Titans 73-70 UCU Canons

UCU Canons 52-77 KIU Titans

Power 73-41 Ndejje Angels

Ndejje Angels 77-84 Power

Titans yawangudde UCU mu nsisinkano zombi ebbiri eza “Quarter” mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ku bugoba 73-70 ne 77-52 nga kati yeesunga kudda mu biwundu bya bannantameggwa ba liigi eno City Oilers be yawangula ensiike zombi ze baasisinkana ku mutendera gw’ekibinja.

Brian Wathum atendeka KIU Titans agamba nti talina ttiimu gy’anyoma ku mutendera gwa Semi nga newankubadde baakuba Oilers mu kibinja naye ekyo tekibeeyinuza, wabula batunuulidde kutuuka ku fayinolo.

Ethienne Kaungu ye yasinze okuteebera KIU n’obugoba 18. Sudi Ulanga, Michael Bwanga ne Joseph Chuma ne baddako n’obugoba 13,10 ne 10.

Betway Powers nayo oluvannyuma lw’okuwandulamu Ndejje Angels ku bugoba 73-41 ne 84-77 akalulu kaagisudde ku JKL Dolphins ku luzannya lwa Semi.

City Oilers be balina ekikopo kya sizoni ewedde era nga baakakiwangula emirundi 5 egy'omuddiring'anwa.