Amasomero gafunye ebisaawe eby'omulembe

By Samson Ssemakadde

Amasomero abiri (2) gabinuka masejjere oluvannyuma lw'okufuna ebisaawe eby'omulembe

AMASOMERO ga pulayimale abiri (2) gasambira nnyuma nga jjanzi oluvannyuma lw’okufuna ebisaawe by’okuzannyiramu emizannyo egy’enjawulo.

Ebisaawe  byabakwasiddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo gya Olympics (UOC), ekitebe kya Bufalansa wamu n’ekitongole kya KCCA.

Pulezidenti wa UOC, William Blick yagambye nti ebisaawe bigenda kuyamba mu ku kulaakulanya ebitone by’abavubuka  kuba bigenda bikeendera mu ggwanga.

 illiam lick ku kkono omubaka wa ufalansa mu ganda tephanie ivoal wakati nomumyuka wakulira ekitongole kya  am serunkuumaWilliam Blick (ku kkono), omubaka wa Bufalansa mu Uganda Stephanie Rivoal (wakati), n''omumyuka w'akulira ne Sam Sserunkuuma okuva mu KCCA

 

E bisaawe  biri ku Police Children P/S e Kibuli ne Nakivubo Blue P/S, nga muzannyirwamu emizannyo egye’njawulo okuli; omupiira, okubaka, volleyball, handball ne basketball.

Omubaka wa Bufalansa mu Uganda Stephanie Rivoal yagambye ebisaawe bino tebigenda kukoma ku kuyamba bayizi bokka, wabula n’abantu abalala abalinaanye amasomero