Ed Woodward yalinnya mu ddiiru ya Perisic

By Musasi wa Bukedde

Mourinho yali amaze akabanga ng'aperereza ssita wa Inter, Ivan Perisic era ng'asuubira okumussa ku wingi aliikirize Romelu Lukaku mu bifo byonna.

Peri 350x210

NG'EKOLAGANA y'omutendesi Jose Mourinho ne Ed Woodward eyongera okukeewa, ensonda zongedde okusima ebyama bya ttiimu eno.


Ab'omu 'nju' bagamba nti osanga ManU yandibadde tedaaga nnyo singa abakungu ba ManU baafaayo okugulira Mourinho abazannyi be yali ayagala.


Banokoddeyo ssita wa Inter, Ivan Perisic ng'ono Mourinho yali amaze ebbanga ng'amuperereza era ng'asuubira okumussa ku wingi aliikirize Romelu Lukaku mu bifo byonna.


Wabula bagamba nti Inter Milan, yali emutunda obukadde bwa pawundi 48 kyokka nga ManU emugula obukadde bwa pawundi 45. Kigambibwa nti Ed Woodward eyalina okukkiriza ayongereko obukadde bwa pawundi 3 bwokka, yeerema okukkakana nga ddiiru eyalina okuleeta Perisic mu ManU eyiise wadde ng'abakulira ManU abalala baali bakkiriza. Bino byonna byaliwo mu katale k'abazannyi mu 2017.