Obubonero bwawuddemu aba mmotoka

By Nicholas Kalyango

Abakungu ba mmotoka beeyawuddemu olw'obubonero obwaggyiddwa Ronald Ssebuguzi n'abavuzi abalala

Sebweb 350x210

NG’AVABUZI ba mmotoka beetegekera empaka eziggalawo kalenda y’omwaka guno, abakungu b’ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya FMU, beetemyemu ku bubonero obwaggyiddwa ku Ronald Ssebuguzi n’abalala.

Omugatte, abavuzi 16 be baakoseddwa ensalawo ya FMU wiiki ewedde, ekyaviirako ebifo by’engule y’eggwanga okukyuka, nga kati  abaali basuubira okugiwangula essuubi lyakendedde, sso  ng'abalala lyagwerawo ddala.

 usman kee pulezidenti wa Dusman Okee, pulezidenti wa FMU

 

 

Abavuzi abaggyiddwaako obubonero balangibwa kunyomoola tteeka lya FIA, ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu nsi  yonna, ery’okuvuga ne batakozesa ttanka empya ekika kya 'FT3 Safety Fuel Tanks'.

Ernest Zziwa, omumyuka wa ssaabawandisi wa FMU, yagambye nti  ebyafulumiziddwa pulezindenti waabwe, Dusman Okee, si bye byasaliddwawo akakiiko k’oku ntikko (Management committee)

 rnest ziwa omumyuka wa ssaabawandiis wa u Ernest Zziwa, omumyuka wa ssaabawandiis wa FMu

 

Okee mu bbaluwa yategezza nti;  Abavuzi abaabadde batagwanira bubonero twabubaggyeeko nga tuyita mu kawaayiro 7.1.1 akafuga okuvuganya ku ngule y'eggwanga n’akawaayiro nnamba 2.4 aka ssemateeka wa FMU.

Kyokka Zziwa yagambye nti; tetulina buyinza busalawo era ne pulezidenti  tabulina, kuba tulina okusooka okuyita abalala abakola akakiiko akaddukanya ekibiina kino (Executive Committee), Zziwa bwe yannyonnyodde.

 

NRC bw'eyimiridde kati

Jas Mangat 305

Ronald Sebuguzi 300

Susan Muwonge 295

Hassan Alwi 210

 

Bwe babadde bayimiridde ng’obubonero tebunnasalwako

Ronald Sebuguzi 340

Susan Muwonge 315

Jas Mangat 305

Hassan Alwi 230