Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula emisinde

By Musasi wa Bukedde

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills Race’

Joshuaweb 350x210

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y’ensi yonna empya ng’awangula emisinde gya ‘2018 NN Seven Hills Race’. Kiromita 15 yaziddukidde  sikonda 41.05, ng’aggyawo likodi ya 49.05 ebaddewo. Guno mulundi  gwakuna ogw’omuddiring’anwa nga Cheptegei awangula empaka zino.

Cheptegei yaleebezza banne okuva ku ntandikwa, era wadde  bangi ku be yabadde avuganya nabo bagenze bavaamu, teyaddirizza mu sipiidi ye okutuusa lwe yatuuse ku kaguwa.

“Nga waakayita kiromita  10 nnalabye nga likodi y’ensi yonna ngiri waggulu, era ku kiromita 12 nnasazeewo okwongeramu sipiidi. Kiromita eyasembye teyabadde nnyangu  naye nasobodde okumalako, era ndi musanyufu  olw’ekyo kyentuseeko,” Cheptegei bwe yategeezezza  ng’emisinde gyakaggwa.

 tella hesang bwe yali mu mizannyo gya ommonwealth mu kibuga old oast mu ustralia Stella Chesang bwe yali mu mizannyo gya Commonwealth mu kibuga Gold Coast mu Australia

 

Mu kiseera kye kimu, Stella Chesang naye yawangudde mmita 10,000 mu bakazi ze yaddukidde sikonda 47:19, mu mpaka ze zimu ezaabadde mu kibuga Nijmegen mu Netherlands.

Mu April, Cheptegei ne Chesang baawangula emidaali  gya zaabu mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu kibuga Gold Coast mu Australia. Cheptegei yawangula mu mmita 5,000 ne 10,000 mu basajja, sso nga Chesang yawangula mmita  10,000 mu bakazi.