Mbogo ne Kakungulu bakomyewo bayomba mu Badminton w'amasomero

By Musasi wa Bukedde

ABAYIZI ba Mbogo High ne Kakungulu Memorial SS ab’omuzannyo gwa Badminton bakomyewo okuva e Ghana nga bayomba olw’okubalemesa Zzaabu w’empaka za 2018 All Africa Secondary School Badminton games.

Fake 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Bannantameggwa b’empaka zino Kakungulu Memorial SS wamu ne Mbogo High ab’abadde ab’okubiri ku lukalu lw’Afrika mu muzannyo gwa Badminton w’abamasomero b’aganiddwa okuzannya omuzannyo gw’awamu (Team Event) oluvannyuma lw’okulererwa okuweza omuzannyi owokuna akola ttiimu ey’abazannyi bana abalina okwetaba mu muzannyo guno mu balenzi n’abawala.

Kino ky’alemesezza Kakungulu  okweddiza omuddaali gwa Zzaabu nga bannantameggwa ate Mbogo High n’esubwa okuwangula ffeeza oba zzaabu mu kibuga Accra ekya Ghana gye b’abadde.

Brian Kasiry kapiteeni w’abalenzi agamba nti ssi kya bwenkanya Ghana okubeefuulira n’ebagaana okuzannyisa abazannyi basatu wabula ne bacuusa nti balina kuba bana okubalemesa okweddiza empaka zino nga Uganda.

“Ghana yatuliddemu olukwe ne yeekobaana n’abaddifiri okutugaana okuzannya nga beekwasa ttiimu obutawera ate nga bbo bwe bajja wano ewaffe mu 2017 baazannyisa abazannyi basatu ne tubaleka,” Kasirye bwe yeemulugunyizza.

Uganda yasobodde okwetaba mu nzannya eza “singles”, “Doubles” ne  “Mixed”  era n’ewangula emiddaali gy’ekikomo 9 n’ogwa zzaabu gumu(Men’s Single) ogw’awanguddwa Kapiteeni Brian Kasirye owa Kakungulu Memorial School.

Empaka zino zaazannyiddwa mu kibuga Accra ekya Ghana okuva nga December 13-20.