Misiri y'erondeddwa okutegeka eza AFCON 2019

By Stephen Mayamba

MISIRI erondeddwa okutegeka empaka z’omupiira z’amawanga ga Africa ez’akamalirizo eza Africa Cup of Nations 2019.

Cranescapeverde7 350x210

Misiri okuweebwa olukusa ewangudde South Africa bwe bawaayo okusaba bazitegeke oluvanyuma lw’eggwanga lya Cameroon eryari lyasooka okuweebwa olukusa okulugibwako olwentekateeka mu ggwanga eryo okutambula akasooba ab’ekibiina ekiddukanya omupiira muu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) ne bafunamu okutya nti eyinza okuba teyetegese mu June empaka lwezigenda okuzannyibwa.

Okusalawo Misiri etegeke kutuukiddwako leero mu lutuula lw’akakiiko ka CAF ak’oku ntikko olutudde enkya ya leero mu kibuga Dakar ekya Senegala awagenda okubeera omukolo gw’okugaba engule z’abazannyi basinga banaabwe mu mwaka 2018.

Uganda yayitamu dda okwetaba mu mpaka zino oluvanyuma lw’okukulembera ekibinja L mweri ne Tanzania, Cape Verde ne Lesotho yadde ng’ebuzaayo omupiira gumu.