FUFA eyise abatendesi Sam Ssimbwa ne Mike Mutebi bennyonnyoleko ku by'enguzi

By Stephen Mayamba

AKAKIIKO ka FUFA akakwasisa empisa aka FUFA Competitions Disciplinary Panel kayise abatendesi Sam Ssimbwa owa URA FC ne Mike Mutebi owa KCCA FC beewozeko ku bigambo bye baze boogera gye buvuddeko ebikwatagana n’okugula emipiira mu liigi n’empaka ez’enjawulo mu ggwanga.

Ssimbwa1 350x210

Gye buvuddeko ku kabaga akasibula eyali nnankulu wa KCCA FC Jeniffer Musisi, Mike Mutebi yategeeza nga ebikopo byonna ebya liigi mu myaka 10 egiyise bwe bibadde ebipange nga ttiimu zibadde zigulirira okubiwangula era nakakkasa nga bwali omwetegefu okujjulira singa abeera aytitiddwa.

Ku wiikendi ewedde ye Sam Ssimbwa oluvannyuma lwa ttiimu ye okulemagana ne Kirinya Jinja SS 1-1 mu mupiira ogwabadde e Jinja naye yategeezezza nga baddifiiri bwe basiba emipiira nti era tatya kukyogera ne bwaba ayitiddwa.

Enkya yaleero FUFA ekedde kusa bubakka ku mikutu gyayo egya yintanenti netegeeza nga ababiri bano bwe bayitiddwa banyonyole bye babadde bategeeza.