Eya Lukanga esemberedde ekikopo

By Musasi wa Bukedde

Lukanga Boxing Club yayongedde okusemberera ekikopo bwe yeefuze oluzannya lwa ‘semi’ n’etuusa abazannyi 4 ku fayinolo mu mpaka za ‘National Open Boxing Championship’.

Laba 350x210

FRED KISEKKA

Empaka zino zimaze wiiki emu nga zibumbujjira mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo nga mu kiseera kino zaawumudde oluvannyuma lwa ‘semi’ okuggwa. Kiraabu kati zirinze fayinolo ey’okubaawo nga February 3 mu kifo ky’ekimu.

Kiraabu ya Lukanga ekulembeddemu zinnaazo n’obubonero 19 ng’eddirirwa East Coast ku (16), Police (14) ate COBAP, KCCA ne University Of Pain zisibaganye ku bubonero 12.

Lukanga kati yeetaaga kuwangulako ennwaana 3 ku 4 ezisigaddeyo esitukire mu kikopo.

Ezimu ku nnwaana ezaabadde ez’obunkenke ku ‘Semi’ lwe lwa Yusuf Babu owa COBAP bwe yabadde awangula Paul Kayondo owa kiraabu ya Zebra.

Endala kwabaddeko olwa Joshua Male (Zzana Boxing Club) eyakubye John Owino (UPDF) ne Muhammad Lwanga (Katwe) ng’akuba Moses Kabuuka owa Police.