Makerere ekomyewo mu za yunivasite n'ennyonta

By Musasi wa Bukedde

OKUMALA emyaka ebiri nga Makerere University ekaligiddwa okuzannya mu Pepsi University League, ekomyewo n’ennyonta ya ggoolo 1-0 gye yakubye KIU ku mutendera gw’okusunsulamu ttiimu essatu ezineegatta ku 13 okuweza 16 sizoni eno(2019).

Funa 350x210

Bya GERALD KIKULWE

Mu Pepsi University League

Muni University 0-5 Gulu University

Makerere 1-0 KIU

Mu October,2017, Makerere yali ezannya ne Busitema University mu mupiira ogwali guggalawo egy’ebibinja, yali emaze okuyitawo okuzannya Gulu University ku “Quarter” wabula tekyasoboka lw’abawagizi baabwe okwesogga ekiyungu kya Busitema ne balya emmere yonna eyali ey’abayizi, ekyaleetawo akakyankalano n’omupiira ogwo ne gutaggwa.

Kino kyawaliriza akakiiko akakwasisa empisa mu liigi ya yunivasite okukaliga Makerere emyaka ebiri wabula ku luno bakomyewo nga bayita mu kasengejja ak’atandise sizoni eno nti buli ttiimu esemba okuva buli kibinja, erina kuyita mu kakungunta ng’ezannya ezimu ku ttiimu ezitabadde mu Liigi, era ensinza ensumika okuva mu nsiike ebbiri (awaka ne kubugenyi) ye yeegatta kw’ezo 12 ezaakola obulungi mu bibinja sizoni ewedde okuweza ttiimu 16.

William Kasozi atendeka Makerere agamba nti bayize bingi nga bali ku kibonerezo naye n’asuubiza ku mulundi guno okwolesa emisa ennungi kuba baagala kikopo kya kubiri mu liigi eno.

Makerere yakoma okutwala ekikopo kino mu 2012, sizoni eyasookera ddala wabula endala nga MUBS, K.U zigivudde mabega ne ziwangula ebikopo bibiri kw’ossa Kyambogo ne UMU abalina ekimu buli emu.