Powers ereese 3 kulemesa City Oilers liigi.

By Nicholas Kalyango

Okuva mu 2011, Powers enoonya bazannyi baddamu kugiwanguza liigi. Buli katale kabazannyi ekajjumbira nga ne ku luno yeekasoosemu.

Baskett 350x210

MU kaweefube w’okulaba nga balemesa City Oilers okuddamu okutwala ekikopo kya liigi ya basketball, aba Power Basketball Club bongedde amaanyi mu ttiimu yaabwe bwe baguze abazannyi 3.

Power yalagiridde Libe Makala, Samuel Agutu ne Syrus Kiviiri nga bano yabagasse ku bazannyi abalala be babadde nabo sizoni ewedde. Power yaakawangula liigi ya basketball emirundi 5 nga yasemba okugitwala mu 2011.

Okuva Ben Komakech lwe yabaabulira n’agenda mu City Oilers, basiitaanye okukuwangula ekikopo. Sizoni ewedde yaleeta Brian Sivachi (okuva mu Nkumba), Geoffrey Soro (KIU), Mike Madol (UCU Canons), Amin Mkhosa (Savio, Tanzania), Philip Ameny (Warriors), Stephen Wundi (UCU Canons) ne David Opolot (okuva mu Our Savior) wabula era liigi n’egaana.