Ow'ebikonde abivuddemu lwa ddogo

By Musasi wa Bukedde

Badru Lusambya, oweebikonde agambye nti abivuddemu lwa ddogo

Lusambyalusambya 350x210

 

Bya FRED KISEKKA

OMUGGUNZI w’eng’uumi, Badru Lusambya alangiridde nga bw’atagenda kuddamu kuzannyira  bikonde mu Uganda lwa ddogo.

Lusambya yategezezza Bukedde nti amaze ebbanga ng’awulira abantu bamuyeeya olw’okukubwa Meddie Kabona Ssebyaala eng’uumi ezamulekako kikuba mukono nti kyokka kye bataamanyi nti yawangulwa lwa ddogo.

Lusambya alumiriza nti eddogo lino balimuteera mu lingi era nti lyamuwunza awamu n’okumutula emikono n’amagulu.

 usambya ngali ku ttaka Lusambya ng'ali ku ttaka

 

Lusambya ne Ssebyaala battunkira omusipi gw’eggwanga mu buzito bwa ‘Welter’, nga December 26 omwaka ogwedde, ku kizimbe kya La’Ponye mu Kampala. Lusambya , teyakubayo Ssebyaala wadde ekikonde  ekiyuza olulagala era ku laawundi 10 ze baalina okuttunkira yamalako.

SSEBYAALA AYANUKUDDE.

Ebya Lusambya okugamba nti yawangulwa lwa ddogo, Ssebyaala ebiyise bya kyewusa n’agamba nti zandiba ng’eng’uumi ze yakumukuba ze zikyamuli ku mutwe.

“ Ssinga kituufu nti  eddogo lye liwangula ennwana, Samuel Lukanga, nannyini Lukanga Boxing Club, era okola ogw’okusawulo, yandibadde na buli musipi mu ggwanga,” Ssebyaala bwe yagambye.