Obuvune bulemesezza Omar eza ddigi

By Nicholas Kalyango

Ali Omar ' Bobo' Asubiddwa empaka za ddigi ezigenda okubeera e Busiika ku Paasika.

Omaromar 350x210

Ddigi e Busiika ku Paasika

FIM Central Africa Motocross Championship

Ebisale: 10,000/-

TTIIMU ya Uganda eya ddigi egenda okuvuganya mu mpaka za Afrika eza ‘FIM Central Africa Motocross Championship’ eguddemu ekyukwe, Ali Omar Yasser avugira mu mutendera ogwokusatu (MX 125cc) bwe yakakasiddwa nga bwatagenda kuzeetabamu olw’obuvune.

Omar, amannyiddwa ennyo nga ‘Bobo’,  obuvune yabufuna muFebruary bwe yali yeetegekera empaka ezaggulawo kalenda ya ddigi ey’omwaka guno.

Kitaawe Ali Omar, yategeezezza nti  abasawo basabye mutabani weobutapapa kudda ku ddigi asobole okuwona obulungi. 

 

Wabula kapiteeni wa ttiimu, Maxime Van Pee mugumu nti, balina ttalanta ezimala okusitula bendera y’eggwanga. 

Uganda, bakyampiyooni b’omwaka oguwedde, baagala kugenda mu byafaayo nga bawangula empaka zino omulundi ogwomukaaga ogw’omuddiring’anwa.

Amawanga agakakasizza okwetaba mu mpaka zino kuliko  Kenya, Tanzania, Rwanda ne Burundi.

Empaka zaakubeera Busiika ku Paasika, era zaakulagibwa layivu ku Urban TV eri wansi wa Vision Group etwala ne Bukedde.