Abaddusi balwanira bifo ku ttiimu y'eggwanga

By Scovia Babirye

Abaddusi ab'enjawulo bakyalwana okulaba nga balinnyisa omutindo ogunaabayamba okugenda ku ttiimu y'eggwanga eneekiika mu z'ensi yonna

Misindeweb 350x210

 

NGA Uganda yeetegekera emisinde gya All Africa Games  eginaayindira e Morocco mu August,  ne World Championships eginabeera mu Doha Qatar mu September, abaddusi bakyagenda mu maaso n'okulwanira ennamba ku ttiimu y'eggwanga.

UAF  kyateekawo okutendekebwa kwa mirundi 14 okusobola okuyamba ku baddusi okufuna omutindo mu mpaka ez’enjawulo era guno omulundi gwakuna.

Omu ku baddusi Shida Leni, yayongedde n’amenya likodi bwe yadduse emisinde gya mmita 400 mu sikonda 52.00, okusinga ku likodi gye yateekawo omwaka oguwedde eya sinkonda 52.14.

 hida eni Shida Leni

 

Leni yategeezezza Bukedde nti yandibadde akola bulungi n’okusingawo, naye banne tebannafuna mutindo  sso nga be baali bamuyambye okwongerako.

‘’Abaddusi beenvuganya nabo mu misinde gino bakyali banafu  nnyo, ate nga bebalina okunnyamba okwongerako, kuba bw’emba nziruka be nnina okwepimirako,"Leni bwe yannyonnyodde, n’agattako nti abatendesi ba kiraab ez’enjawulo basaana okwongeramu amaanyi kuba abaddusi abasinga bakyali banafu, ate ng’obudde budduka.