Ekibiina ky'ebikonde kinaarwanyisa siriimu

By Silvano Kibuuka

Ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga, kyegasse n'ebibina by'obulamu okulwanyisa obulwadde bwa siriimu mu bazannyi

Boxingweb 350x210

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’ebikonde, ekya Uganda Boxing Federation (UBF), kitongozza kampeyini y’okulwanyisa akawuka ka siriimu nga kiyamba abazannyi okwekebeza.

Baatandise mwaka oguwedde okukebeza abazannyi bonna abeetaba mu buli mpaka, kuno kwe bagasse abatendesi, baddiifiri n’abakulembeze mu kibiina kya UBF.

Ku Mmande, pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi abadde n’abaddukanya ebitongole by’ebyobulamu eby’enjawulo okuli AIC, UNAIDS ne ICI n’alangirira kampeyini eyookubiri etandika ku Lwokutaano, n’okukebera abazannyi  n’abantu abalala ku kiraabu ya Sparks Bombers e Luzira.

 “Twegasse n’abazirakisa ab’ebyobulamu okulwanyisa mukenenya. Tugituumye ‘Box HIV out of Uganda’. Aba UNAIDS baagala obulwadde bwa siriimu okufuuka olugero mu nsi yonna omwaka gwa 2030 we gunaatuukira”, Muhangi bwe yategeezezza.

Dr. Karusa Kiragu, akulira UNAIDS mu Uganda, yagambye nti ebibiina 11 mu nsi yonna bye byefunyiridde okulwanyisa  obulwadde buno.