Nsambya Fc yesozze liigi ya Region

By Musasi wa Bukedde

Nsambya Fc yesozze liigi ya Region

Got1 350x210

Nsambya FC 2-1 Nawanku FC

KYADAAKI ttiimu ya Nsambya FC emaze n’eva mu liigi y’ekibinja ekisooka oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga evuya.

Nsambya FC abasinga gyebaakazaako erya “Namukadde”, y’emu ku ttiimu ezasookera ddala okuvuganya mu liigi ya babibinyweera nga yatandikibwawo banna ddiini b’enzikiriza enkatoliki mu 1911 era ye ttiimu eyasooka okuwangula Kakungulu Cup kati ayitibwa Uganda Cup .Mu 1999 yasalibwako n’etandika okukkirira mpolampola paka mu Liigi ya Region okukkakkana nga esibidde mu liigi y’ekibinja ekisooka gyebadde emaze sizoni bbiri nga gyevuyiza.

Olunaku lw’eggulo yazzeemu ne y’esogga liigi ya Region bweyawangudde ttiimu ya Nawanku goolo 2-1 mu mupiira ogwakomekkereza liigi y’ekibinja ekisooka ku kisaawe kya Officers Mess e Makindye.

Boban Fredrick Tusuubira nga ye mutendesi era eyazannyirako ttiimu eno yategeezezza nti obumu obubadde mu ttiimu kwossa n’obuvujjirizi okuva mu kigo kye Nsambya bwebubayambye okutuuka kubuwanguzi buno era n’asuubiza okuddamu okusitula ttiimu okugizza mu kifo weyali.

Eno yaleeta abazannyi omuli Denis Onyango,Isaaca Okolima n’abalala