Aba volleyball bayigga obukadde 150

By Gerald Kikulwe

Ttiimu y'eggwanga eya volleyball eri mu kattu kakunoonya obukadde 150 esobole okwetaba mu z'okusunsulamu abalizannya mu mizannyo gya Afrika

Volleyballweb 350x210

TTIIMU y’eggwanga ey’abasajja eya volleyball eri mu kattu kakunoonya obukadde 150 okusobola  okwetaba mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu mizannyo gya Afrika mu August.

Empaka z’okusunsulamu zitandika ku Ssande nga June 2, mu kibuga Nairobi ekya Kenya nga Uganda yaakubbinkana n’ensi musanvu okuli; Misiri, Ethiopia, Kenya, Rwanda, Tanzania, Sudan ne South Sudan, okufunako ttiimu emu eneekiikirira Zone 5, mu mizannyo gya Afrika egy’okubera e Morocco.

Hadijah Namanda, pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno, yategeezezza nti abazannyi baakamala wiiki bbiri mu kutendekebwa kyokka ng’abakulembeze beeraliikirivu kuba ennaku ziweddeyo  ng’ensimbi obukadde 150 tebannazifuna.

Ssente zino kuliko ez’entambula, okusula, okulya n’ebyetaagisa ebirala bye baneeyambisa mu wiiki ennamba empaka gye zinaamala nga zigenda mu maaso.

 “Tw’ateekayo embalirira ya kawumbi kamu  mu NCS wabula twaweebwayo 8,000,000/-, ttimu y’abatasussa myaka 20 bwe yali egenda mu AFCON. Wiiki ewedde, twakyazizza amawanga ana (4) mu z’okusunsulamu kw’abakazi, naye tewali  yatukwatiddeko. Ku mulundi guno tusaba Gavumenti ne NCS batukwatireko,”Namanda bwe yeemulugunyizza.

 avid atende ngannyonnyola David Katende ng'annyonnyola

 

David Katende Ssemakula, amyuka Ssaabawandiisi wa NCS, yategeezezza nti tewali muzannyo gw’ewandiisa gutafuna buyambi, wabula ekiremesa emizannyo egimu bwe butagoberera mitendera mituufu ate n’obutayogera mazima naddala nga basisinkanye bannamawulire.

“Volleyball tuzze tubagikwatirako emirundi mingi. Obuzibu buli mu bakulembeze b’omuzannyo abatagoberera mitendera. NCS kibiina kinene nnyo ekitambulira ku bwerufu n’emitendera, naye aba volleyball b’alina emivuyo mingi era basaana beetereeze,” Katende bwe yategeezezza.