Abavuzi 40 beesunze ez'akafubutuko

By Gerald Kikulwe

Abavuzi ba mmotoka z'empaka baweze okweriisa enfuufu mu mpaka z'akafubutuko

Rallywebweb 350x210

ABAVUZI ba mmotoka z’empaka 40, baweze okweriisa enfuufu  bwe banaaba battunka mu z’akafubutuko ezisookedde ddala ku kalenda y’omwaka guno.

Empaka zino zaatongozeddwa ku Lwokubiri, ku Forest Resort Park e Buloba, w’ezigenda okubeera, ng’abavuzi 12 n’abasomi baabwe aba maapu, be bamu ku baabaddewo.

Empaka zaatuumiddwa ‘2019 FMU Sprint Rally’, era zaakubeerawo ku Lwomukaaga nga June 9.

Hamid Gombe, omumyuka wa pulezidenti wa FMU, ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno, yagambye nti ng’oggyeeko obubonero, omuwanguzi waakuweebwa sseddume w’ente ate owookubiri n’owookusatu bafune kimeeme w’embuzi.

Joseph Bbosa, nnannyini Buloba Forest Park, yakalaatidde abawagizi obutasukka lukomera lwe bataddewo, okusobola okwewala obubenje.

“Omuzannyo guno mulungi era ffenna tugunyumirwa naye tetujja kugwenyumiririzaamu ng’abamu ku bannaffe bafunye obubenje.” Bbosa bwe yategeezezza.

Dick Charles Ssemengo, eyakuliddemu amakubo, yategeezezza nti mmotoka zaakutolontoka kiromita 1.77.

Arthur Blick Junior ye kyampiyoni w’omwaka oguwedde.