Arsenal eddidde Carrasco

By Musasi wa Bukedde

Arsenal yali eyagala kugula Carrasco omwaka oguwedde wabula ne bamubatwalako.

Carascojpg22 350x210

ARSENAL eneetera okumaliriza enteeseganya ne Yannick Carrasco azannyira mu Dalian Yifang eya China.


Omwaka oguwedde, Arsenal yali egula omuzannyi ono okuva mu Atletico Madrid wabula Yifang n’egisinza amaanyi n’emutwala. Mu kifo ky’ono, Arsenal yatwalamu Denis Suarez okuva mu Barcelona ku bbanja kyokka kati yamuzzizzaayo.


Omutendesi Unai Emery agamba nti ayagala kuttukiza byakutwala Carrasco kyokka n’omuzannyi yennyini yategeezezza nti ayagaka kuddayo azannyire mu ttiimu z’omu Bulaaya.


“Ekisinga obukulu, ndi wala ne famire yange ate nga nneetaaga okubalambulako,” Carrasco bwe yategeezezza. Endagaano ya Carrasco ne Dalian Yifang eneetera okuggwaako.