Aba She Cranes beesunga World Cup

By Gerald Kikulwe

Ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes eggumidde oluvannyuma lw'omu ku bapulofeesono okubeegattako mu kutendekebwa

Netballweb 350x210

 

SSITA wa ttiimu y’eggwanga ey’okubaka (She Cranes) Mary Nuba, ezannyira mu Loughborough Lightning mu Bungereza, ayongedde ebbugumu mu nkambi gye yeegasseeko ku Mmande.

Nuba, eyatuuse mu ggwanga ku wiikendi, ku Mmande ku makya yabukeereezza nkokola  ne yeegatta ku banne  abamaze omwezi omulamba mu kutendekebwa e Lugogo.

She Cranes yeetegekera World Cup agenda okubeera mu kibuga Liverpool mu Bungereza, wakati wa July 12-21.

“Tulina ttiimu ennungi, naye tubulamu emifumbi n’okuggyayo amaanyi g’Ekifirika nga tuli ku kisaawe. Abazungu bagatta obwongo, okutendekebwa okw’omuguundu n’amaanyi, era bwe tuba baakukola bulungi, tulina okwongera obukodyo obupya mu nzannya yaffe," Nuba bwe yategeezezza

Wiiki ewedde, Ssaabawandiisi w’ekibiina ekivunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga (NCS) Dr.Bernard Ogwel, y’ayanjula ttiimu y’abazannyi 15 n’abakungu 6 abagenda okukiikirira Uganda mu mpaka zino.

Abaalondeddwa kuliko; Jesca Achan, Lilian Ajio, Betty Kizza, Ruth Meeme, Joan Nampungu, Muhayimina Namuwaya, Stella Nanfuka, Racheal Nanyonga, Sylivia Nanyonga ne Stella Oyella, Mary Nuba, ne Peace Proscovia.

Martha Soigi, Irene Eyaru ne Shariffie Nalwanja  be bateereddwa ku katebe, ate Norah Lunkuse, Irene Akello, Hindu Namutebi ne Fausia Nakibuule be baasaliddwaako.