Aba USPA basiimye owoobuzito

By Silvano Kibuuka

Bannamawulire ba USPA basiimye Roy Mubiru omusituzi w'obuzito, ku buzannyi b'omwezi gwa May, lwakuwangula emidaali gya zaabu 2

Powerpowerweb 350x210

Omusituzi w’obuzito Roy Mubiru, amezze ttiimu y’eggwanga eya Beach Woodball, ku buzannyi bw’omwezi gwa May, mu kulonda kwa bannamawulire  abawandiika ag’emizannyo, nga beegatira mu kibiina kya USPA (Uganda Sports Press Association).

Mubiru yafunye obululu 300 nga bamusiima  okukiikirira obulungi eggwanga n’awangula emidaali gya zaabu ebiri mu Ukraine, mu mpaka z’ensi yonna ezeetabiddwamu abazannyi okuva mu mawanga 24. Omugatte yasitudde kkiro 555.

Eya Beach Woodball, eyawangudde emidaali gya zaabu mukaaga  e Ntebe mu z’ensi yonna, yakuttte kyakubiri ku bululu 280, ate omuddusi Jackob Kiplimo eyawangudde emisinde gya kirommita 10 e Manchester mu Bungereza, n’akwata kyakusatu, ku bululu 275.

Mubiru zaabu esooka yagifunye mu kuwangula aboobuzito bwe obwa kkiro 125, ate endala bwe yasiinze abazannyi bonna abeetabye mu mpaka zino.

 oy ubiru Roy Mubiru

 

Abalala abaasiimiddwa mu May ye ttiimu ya Proline FC, eyawangudde Uganda Cup,  St. Mary’s Kitende eyawangudde eza COPA Coca Cola 2019 ne ttimu ya volleyball ey’abakazi, eyakutte ekyokubiri mu z’okusunsulamu eza Afrika.

USPA era erangiridde nti Kasana SSS, yaggiddwa ku buwanguzi bwa April ne buweebwa KCCA eyali ekutte ekyokubiri kubanga ebikonde bye yali esinzidde okuwangula byaggwa nga March 31.

Pulezidenti wa USPA, Patrick Kanyomozi akubirizza amatabi ga USPA amapya mu bitundu omuli Masaka, Hoima, Gulu ne Mbale, okwongera okuloondoola abazannyi mu bitundu ebyo, basobole bamanyike.

Bino byabadde mu lutuula lwa Nile Special – USPA, olwa buli mwezi, olwabadde ku wooteeri ya Imperial Royale, ku Mmande.