Omuzannyi ne kitunzi tebakwataganye

By Musasi wa Bukedde

Lozano ayagala kwegatta ku ManU ate kitunzi we ayagala kumutunda mu Napoli

Raiola11 350x210

MUSAAYIMUTO Hirving Lozano takwataganye ne kitunzi we ku wa gy’alina okugenda. Omuzannyi ono asambira mu PSV Eindhoven eya Budaaki wabula nga ye, nzaalwa y’e Mexico. Kitunzi we ye Mino Raiola amanyiddwa nga ‘super agent’.

 ozano Lozano

 


Akalenzi kano kagamba nti kaagala kuzannyira ManU kyokka nga kitunzi we agamba nti kikafuuwe omuzannyi we okugendayo waakiri waakumuguza Napoli. Carlo Ancelotti atendeka Napoli yamaze dda okwogera ne Raiola era baatandise enteeseganya.


Wadde nga ManU eky’okugula omuzannyi ono yasiinyaako kisiinye, ye omutima guli mu yo era abamuli ku lusegere bagamba nti yandirwawo okukkiriza  eby’okwegatta ku Napoli.


Kyokka ne Raiola yeetegese okumumatiza nga singa anaaba tayagadde Napoli, waakiri anaagenda mu PSG.