She Cranes eggumidde

By Musasi wa Bukedde

She Cranes eggumidde

Fut2 350x210

OMUTEEBI wa ttiimu y’eggwanga ey’okubaka, She Cranes, Mary Nuba, azannyira mu Loughborough Lightning eya Bungereza, yeegasse ku ttimu eno, n'aleeta ebbugumu mu nkambi.

Nuba yatuuse ku wiikendi, ku Mmande ku makya n'agenda e Lugogo, banne gye bamaze omwezi omulamba mu kutendekebwa nga beetegekera World Cup. Empaka zino zaakuzannyibwa wakati wa July 12-21 mu kibuga Liverpool e Bungereza. "Tulina ttiimu ennungi, naye tubulamu emifumbi n’okuggyayo amaanyi g’Ekifrika ku kisaawe.

Abazungu bagatta obwongo, n'okutendekebwa okw'amaanyi, naffe bwe tuba baakukola bulungi, tulina okwongera obukodyo obupya mu nzannya yaffe," Nuba bwe yannyonnyodde. Wiiki ewedde, ssaabawandiisi w’akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka NCS, Dr. Bernard Ogwel, yayanjudde abazannyi 15 n’abakungu mukaaga abagenda okukiikirira Uganda.

Ku bazannyi 17 abaabadde mu nkambi, 10 be baateereddwa ku ttiimu. Kuliko; Jesca Achan, Lilian Ajio, Betty Kizza, Ruth Meeme, Joan Nampungu, Muhayimina Namuwaya, Stella Nanfuka, Racheal Nanyonga, Sylivia Nanyonga ne Stella Oyella. Bano kwe kwegasse Nuba Cholhok ne Peace Proscovia, azannyirwa mu Australia.

Martha Soigi, Irene Eyaru ne Shariffie Nalwanja, baateereddwa ku katebe ate Norah Lunkuse, Irene Akello, Hindu Namutebi ne Fausia Nakibuule ne basuulibwa