'Muggye ebyobufuzi mu mupiira'

By Musasi wa Bukedde

'Muggye ebyobufuzi mu mupiira'

Fot2 350x210

Akulira enkulaakulana y'omupiira mu FUFA, Ali Mwebe, alabudde abatendesi obuteenyigira mu byabufuzi, lwe banaayamba okuzimba omupiira okuviira ddala wansi mu masomero.

Yabadde aggalawo omusomo gw'abatendesi ogusookerwako, ogwetabiddwaamu abantu 63, ku kitebe kya FUFA e Njeru.

''Kyamukisa nti mubanguddwa mu nsonga nnyingi, era musobola okuyamba eggwanga okuleeta emigigi emito, eginaayamba okutwala omupiira mu maaso," Mwebe bwe yagambye, n'agattako nti; "Muve mu byobufuzi musse mu nkola bye tubabangudde wano".

Joseph Mutaka, nnannyini Tangosport, abaategese omusomo guno, yakubirizza abakazi okwettanira emisomo nga gino