She Cranes egenze ku kisaawe kya kapeti

By Gerald Kikulwe

SHE Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, etandise okutendekebwa mu kisaawe kya kapeti e Nakirebe, nga yeetegekera World Cup etandika nga July 12, mu kibuga Liverpool e Bungereza.

Shecranes 350x210

Bya GERALD KIKULWE
 
SHE Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, etandise okutendekebwa mu kisaawe kya kapeti e Nakirebe, nga yeetegekera World Cup etandika nga July 12, mu kibuga Liverpool e Bungereza.
 
Vincent Kiwanuka, omutendesi wa ttiimu eno, yagambye nti kino baali baakyagala dda, naye nga tewali ssente, wabula bagenda kweyambisa wiiki ebbiri ze basigazza okwongera okulinnyisa ffoomu y’abazannyi.
 
“Twafunye ssente ezaatusobozesezza okupangisa ekisaawe kya kapeti, eky'essomero
lya AVRS e Nakirebe. Kigenda kuyamba abazannyi okukimanyiira basobole okwanguyirwa
nga batuuse e Bungereza," Kiwanuka bwe yategeezezza.
 
She Cranes, emaze ekiseera ng'etendekebwa ku MTN Arena e Lugogo, eri mu kibinja D n'abategesi aba Bungereza, Samoa ne Scotland.
 
Esuzibwa mu wooteri ya Matter Wood e Kyaliwajjala - Namugongo, ng'esuubirwa
okusitula nga July 5.