Mwanamuwala Mwangala azze amazeeko mu za ddigi

By Ismail Mulangwa

MUSAAYIMUTO Esther Mwangala 12, eyeegulidde erinnya mu kubonga ddigi, asuubizza abawagizi be nga bw'atagenda kubayiwayo mu mpaka za 'Mountain Dew Motorcross Championship' eza laawundi eyookutaano.

Mwangala 350x210

Bya ISMAIL MULANGWA
 
MUSAAYIMUTO Esther Mwangala 12, eyeegulidde erinnya mu kubonga ddigi, asuubizza abawagizi be nga bw'atagenda kubayiwayo mu mpaka za 'Mountain Dew Motorcross Championship' eza laawundi eyookutaano.
 
Mwangala, avugira mu mutendera ogwokuna (MX85cc), wabula nga yasubwa eza laawundieyookuna, aweze okuliisa  banne; Ashi Junior Mbabazi, Yuri Subal, Peter Magwa,
Shadia Kateete, Jeremia Mawanda ne Decker Kihara, enfuufu.
 
"Njagala kulaga bawagizi bange ssanyu era mbaleetedde obukodyo obupyaobunannyamba okuwangula,"  bwe yategeezezza.
 
Empaka zaakubaawo nga July 7 e Busiika, era zaakulagibwa layivu ku Urban TV, eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde.