Ba Kafulu ba Badminton bawaga

By Silvano Kibuuka

Ba Kafulu ba Badminton bawaga

Hot2 350x210

Aba ttena ey’ekyoya bagenda kuvuganya mu mpaka za Mihigo Invitational Tournament e Kololo.

Abazannyi bataano abakazi n’abasajja bakafulu mu ggwanga be bagenda okuvuganya mu mpaka zino ku Lwomukaaga ku kisaawe kya JMD Badminton Club e Kololo.

Abawanguzi abasatu abasooka bagenda kufuna 300,000/=, 200,000/= ne 100,000/= wamu n'emidaali okuli ogwa zaabu, feeza n'ekikomo.

Abasajja abamaze okusunsulwa ye Brian Kasirye, Daniel Mihigo, Friday Atana, Fred Kirabo ne Muzamir Lubega, so ng’abakazi ye Gladys Mbabazi, Mable Namakoye, Hushna Kobugabe, Fadiha Shamika ne Fatuma Nabirungi.

Baddiifiri okuva mu kibiina kya Uganda Badminton Association (UBA) be bagenda okulamula empaka zino.