Ab'ebikonde babayiyeemu kavu

By Musasi wa Bukedde

Ab'ebikonde babayiyeemu kavu

Sab2 350x210

Bya Fred Kisekka

Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ efunye ebugumu ekibiina ky’ensi yonna ekya ‘UN Women’ bwe kigiyiyeemu ensimbi emitwalo 30,000 eza ddoola muza Uganda  obukadde 110 ziyambeko mu kwetegekera emizannyo gya Africa egya All Africa Games.

Ensimbi zino zakwasiddwa pulezidenti wa UBF Moses Muhangi ku kitebe ky’ekibiina kya UN Women e Kololo ng'ono yasanyukidde enkata eyabakubiddwa.

Akulira ekibiina kya UN Women mu Uganda Maxime Houinato agambye basazeewo okudduukirira ebikonde kuba gwe gumu ku mizannyo egisinze okuweesa Uganda ekitiibwa era gusaanye obutatiriribwa.

“Emyaka gyona Uganda ebadde eyimiriddewo ku bikonde mu mizannyo, tusazeewo okuguddukirira kuba gulina ebitone bingi ebyetaaga okufibwaako” Maxime bwe yagambye.

Ttiimu y’abazannyi 25 eri mu yakuba amakanda  mukkomera e Luzira ng’emizannyo gya Africa gye yetegekera gya kubeera mu kibuga Rabat ekya Morocco wakati wa August 19 ne 31