Emikisa gya Uganda okuwangula rugby gisanyalade

By Silvano Kibuuka

Ttiimu y'eggwanga eya rugby yakubiddwa Zimbabwe, n'esannyalaza omukisa gw'okuwangula Victoria Cup

Rugbyweb 350x210

Mu Victoria Cup

Uganda 26-31 Zimbabwe

Emikisa gya Uganda okusemberera ekikopo kya Victoria Cup ekyetabwamu amawanga ana (4) mu Rugby gisannyaladde, Zimbabwe bwe yagikubidde ku butaka ku bugoba 31-26.

Wadde abawagizi beeyiye mu bungi ku Legends Grounds e Lugogo ku Lwomukaaga okuwagira Rugby Cranes, Zimbabwe yalaze amaanyi bwe yabasirisizza ku butaka.

Abazannyi ba Rugby Cranes baaluddewo okusumulukula ebinywa, Zimbabwe n’ebateeba obugoba 19-00 mu ddakiika 15 ezasoose, olwo ne bava emabega nga bayitira mu kusimula peneti ssatu ezaanywedde mu ggoolo empanvu ne gukyuka nga guli 12-19.

Mu kyokubiri baakomyewo n’oubkodyo obw’enjawulo ne ne bayunga 19-19, wabula  abagenyi ne baddamu okukulembera, eddakiika 80 ne ziggwako nga Zimbabwe ewangudde.

Zimbabwe y’ekulembedde empaka zino n’obubonero mukaaga oluvannyuma lw’okumegga Zambia ne Uganda. Kenya eri mu kyakubiri ate Uganda mu kyakusatu wadde nga zombi zirina obunobero busatu.