Kyabazinga atongozza Busoga United

Kyabazinga asabye Gavumenti okukwasiza ku bantu abatumbula ebitone bya Bannayuganda

 Diana Nyago ng'akwasa Kyabazinga (wakati) omupiira

Bya BRUNO MUGOODA

 

KYABAZINGA William Gabula Nadiope asabye Gavumenti okukwasizaako abantu abeeweyo okutumbula ebyemizannyo. Yabadde atongoza ttiimu ya Busoga United, ebadde Kirinya Jinja SS, ku Lwomukaaga, ku Jinja Secondary School.

 

'Akakiiko ka Jinja SS kakoze kinene nnyo okutumbula ebitone eby'enjawulo mu Busoga omuli omupiira, cricket, rugby n'okubaka, era nsaba Gavumenti,  ng'eyitira mu minisitule y'Ebyemizannyo ebayambe okwongera ku mulimu guno," Kyabazinga, era nga ye Muyima wa kiraabu eno omuggya bwe yasabye.

Jonathan Kamwan,a omukungu okuva mu minisitule y'Ebyemizannyo , yeeyamye okukola ekisoboka okulaba nga Busoga United efuna ku nsako y'ensimbi Gavumenti z'essa mu mizannyo egy'enajwulo.