Vision Group emezze Lugazi mu mupiira gw'ebigere n'okubaka

By peter ssaava

Vision Group emezze Lugazi mu mupiira gw'ebigere n'okubaka

Lop1 350x210

TTIIMU za Vision Group etwala ne Bukedde olupapula zerisizza nkuuli mu mupiira gw’okubaka n’ebigere bwe zaawuttudde eza Lugazi mu mupiira ogw'abadde ku kisaawe kya Mehta Stadium e Lugazi.

Omupiira gw’okubaka gwe gwasoseewo era nga gw'agenze okuggwa nga ttiimu y’abakyala eya Vision Group eguwangudde ku ggoolo 15 ate nga ttiimu ye Lugazi yateebye ggoolo 5 zokka.

Mu gw’ebigere ogw'asambiddwa wakati mu kuvuganya okw’amaanyi, ttiimu ya Vision Group yamezze eya Lugazi ku ggoolo 2-1.

Ggoolo ya Vision Group esooka yatebeddwa Mayambala mu kitundu ekisooka. Mu kitundu eky’okubiri, ttiimu ya Lugazi yatebye ggoolo ey’ekyenkanyi olwo Julius Kafuluma n'ateeba ggoolo ey’okubiri ng’omupiira gunaatera okuggwa.

Kapiteeni wa ttiimu ya Vision Group eyasambye omupiira guno, Haruna Nyombi, yebazizza nnyo ttiimu olw’omutindo gwe yayolesezza kuba neya Lugazi teyabadde nnyangu nnyo ekiri awo.

Omupiira guno bye bimu ku bintu Vision Group bye yakoze mu bulungi bwansi eyabadde ku kisaawe kya Mehta e Lugazi oluvannyuma lw’omudaala ogw'abaddemu okukubaganya ebirowoozo ssaako okumanyisa abantu ku mateeka nga kampuni ya Vision group ekwataganidde wamu n’ekitongole kya Democratic Governance Facility okulaba ng’abantu bafuna obwenkanya.