Abazannyi b'ekigwo balabudwa ku kuzanyira mu muddo

By Silvano Kibuuka

Abazannyi b'ekigwo ekinnansi bawonye okuzannyira mu muddo, bwe babaleetedde ekiwempe 'ekizungu'

Wrestlingweb 350x210

Pulezidenti w’ekibiina ky’omuzannya gw’ekigwo ekya Uganda Wrestling Federation (UWF), Salim Musoke akubirizza abazannyi n’abategesi b’ekigwo okukomya okumegganira ku muddo kubanga baleese ekiwempe ‘Ekizungu’.

Akubirizza n’abaddunkya omuzannyo guno okwettanira okukozesa abatendesi ne baddiifiri abaabanguddwa ku mutindo gw’ensi yonna.

Abyogedde aggalawo omusomo gw’abatendesi 15 ne baddiifiri bataano abaafunye ebbaluwa z’eddaala erisooka okuva mu kibiina ky’ensi yonna ekifuga omuzannyo gw’ekigwo, ekya United World Wrestling ogumaze wiiki emu mu wooteeri ya Imperial Royale mu Kampala.

Omusomo gwaddukanyiziddwa abatendesi Nico Coetzee (ow’abatendesi) ne Charles Villet (owa baddiifiri) okuva mu South Afrika, ne basuubiza aba UOC ne NCS okugutumbula mu ggwanga.