Spurs eyagala kukutula ddiiru ya Dybala

By Musasi wa Bukedde

Spurs eyagala kugulyao muteebi ng'akatale k'okugula abazannyi mu Premier tekannaggalwawo enkya ku Lwokuna.

Dybala00000 350x210

EBULA olunaku lumu lwokka akatale k'abazannyi mu Premier kaggalwewo wadde nga mu liigi endala ez'amaanyi mu Bulaaya kajja kuba kakyagenda mu maaso.

Buli ttiimu za Premier we ziri ziri mu keetalo okulaba nga zeefunira abazannyi nga tebannaggalawo. Spurs, terutumidde mwana nga kati eyagala kwefunira Paulo Dybala.

Ono azannyira Juventus wabula abadde ku mudaala nga ttiimu ez'enjawulo zimuperereza nga ManU ye yabadde esinze okubeera ku mwanjo wadde nga yamwekubya ku ssaawa envannyuma.

Wano Spurs w'eviiriddeyo emwefunire. Omutendesi waayo, Mauricio Pochettino agamba nti ayagala kufuna Dybala, amugatte ku Harry Kane mu kunoonyeza Spurs ggoolo.

Wabula agayita mu nkuubo galaga nti Dyabla, yandisaba omusala ogwa pawundi 300,000 buli wiiki ng'ajja kuba ayita ku Kane afuna pawundi 250,000 buli wiiki.

Juventus emwagalamu obukadde bwa pawundi 69 era ekyebuuzibwa nti Spurs eneezisasula okumugula? Akatala k'okugula abazannyi mu Premier kaggwa nkya ku Lwokuna ku ssaawa 6:00 ez'ekiro.