Abeebikonde bayomba lwa kubasalako

By Musasi wa Bukedde

Abaddukanya ebikonde mu ggwanga bakukkulumidde Gavumenti olw'okubawa ebifo ebitono ku ttiimu egenda mu mizannyo gya Afrika

Bomberswebweb 350x210

Ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga ekya UBF, si kimativu n’omuwendo gw’abazannyi abaayisiddwa okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Afrika.

Kiddiridde akakiiko ka Olympics aka UOC, okuyisa tiketi z’abazannyi  munaana bokka ku 15 UBF be yabadde etegese.

“Ebikonde gye gimu ku mizannyo egisinga okuwangulira Uganda emidaali mu mpaka ez’omuzinzi. Twasabye UOC etukkirize okufuna amakubo amalala tusake ensimbi ezinaatusobozesa okutwala ttiimu ejjudde,” Moses Muhangi pulezidenti wa UBF  bwe yagambye.

Emizannyo gino gyakubeera mu kibuga Rabat ekya Morocco wakati wa August 19 ne 31.