Olutalo lwa Golola ne Semata lukyalanda....

By Musasi wa Bukedde

MOSES Golola of Uganda ayanukudde Umar Semata gwe yawangudde mu lulwana lw’ensambaggere wiiki ewedde nti bw’aba teyamatidde nti yamukubye n’amwogoloza, kirabika omutwe gwe guliko ekikyamu era asana kugenda Butabika baMukebere.

Semata7650432 350x210

Semata yakubye ebituli mu buwanguzi bwa Golola mu lulwana lw’ensambaggere lwe battunkiddemu ku Freedom City ku Lwomukaaga wiiki ewedde ng’agamba nti ddiifiri yabbira Golola era obuwanguzi bwali tebumugwanira.

Wabula Golola oluwulidde bino n’agamba nti eng’uumi ze yapakira Semata kirabika zimutabudde obwongo yeetaaga kubudaabuda. Wano w’asinzidde okumuwa amagezi agende e Butabika bamubudeebude kuba eng’uumi ze yamufukirira zandimusuula eddalu.

Semata yategeezezza gye buvuddeko nti Golola yeekobaana n’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’ensambaggere mu ggwanga ne bamunyaga ne balangirira Golola ku buwanguzi ky’agamba nti kikyamu era ye teyamatira.

Semata agamba nti Golola yamukubanga amaviivi ng’ali ku ttaka ekitakkirizibwa mu mateeka g’olulwana lwabwe olwali mu sitayiro ya K1.

“Golola yalina okufuna ekibonerezo olw’okuleeta obukodyo obutakkirizibwa kyokka kyambuukako abalamuzi ku nkomerero y’olulwana ne kamulangirira nti ye muwanguzi,” Semata bwe yagambye.

Yagasseeko nti Golola bw’aba yeeyita omusajja ajje badding’ane amulagireko bwereere.

Bukedde bwe yayogeddeko ne Golola yagambye nti, “Semata simunenya kuba mu kiseera kino takyamanyi biri ku nsi olw’ebikonde bye yalya. Kirabika yagwa eddalu era asaana kuyambibwa atwalibwe mu ddwaaliro e Butabika afune obujjanjabi.”

“hhenda kukunga abazirakisa tutwale muganda wange oyo mu ddwaaliro ly’abafunye obuzibu ku bwongo.

Okugamba nti namunyaga kiraga bw’ataddanga ngulu kumanya biri ku nsi,” Golola bwe yagambye.

Yagasseeko nti Semata talina njawulo na Titus Tugume gwe nakuba musosolandaggu n’azirika okumala essaawa nnamba yagenda okuddamu okutegeera ng’awoza ‘Unfair’ ng’alinga obwongo bwe bayiiyeemu obuugi.

Mu lulwana luno, Semata yasooka kukulembera mu laawundi esooka, kyokka Golola yamala n’adda engulu n’amukuba eng’uumi ez’omujjirano n’awangula laawundi eyookubiri n’eyookusatu nga wano Semata we yawanikira ng’agamba nti bamukubye evviivi mu lubuto.

PULEZIDENTI W’ENSAMBAGGERE AYOGEDDE;

Patrick Luyooza, pulezidenti w’ekibiina ky’ensambaggere mu ggwanga agamba nti Semata ave mu kwekwasa akkirize nti yawangulwa kuba ye kennyini ye yawanika nga takyasobola kweyongerayo na lulwana.

Luyooza yagasseeko nti Semata yaweebwa obudde obumala okusalawo ekiddako kyokka gye byaggweera n’ategeeza ddiifiri Abbey Kigozi eyali mu mitambo gy’olulwana nti yali takyasobola kugenda mu maaso na lulwana.

“Semata mumutegeeze akkirize ebyava mu lulwana. Buli lunaku lubaako omuwanguzi. Golola yamukuba mu mazima ng’ensi yonna eraba, ave mu kwekwasa nti baamukuba evviivi ng’ali ku ttaka kuba naye yali akoze ekintu kye kimu bwe yali azannya ne Ronald Mugula mu 2016,” Luyooza bwe yagambye.

BADDIIFIRI BEERANGIDDE;

Charles Wandera Mugoya eyalamula olulwana lwa Golola ne Semata olwasooka agamba nti ddiifiri Kigozi eyalamudde olw’okudding’ana yabadde mukyamu okuwa Golola obuwanguzi kuba yabadde akoze ekisobyo ku Semata.

Yagasseeko nti ekikolwa kino kyalaze omutindo gw’ekibogwe ddiifiri gwe yayolesa.

Mu kwanukula, ddiifiri Kigozi agambye nti ddiifiri Mugoya talina ky’amusinza mu kulamula nsambaggere okuggyako okumusinza envi n’agattako nti Golola okukuba Semata evviivi ng’agudde ku ttaka tekyali kigenderere ekitegeeza yali talina kusazaamu lulwana.

Yagasseeko nti, “Ekirala Semata twamuwa obudde obumala obwali bumusobozesa okuddamu okuzannya kuba yali tafunye buvune ye kennyini yawanika ekyali kitegeeza yali akkirizza nti awanguddwa,” Kigozi bwe yagambye.