Abeebikonde boongeddwaamu ebirungu

By Musasi wa Bukedde

Ttiimu y'eggwanga eyeebikonde yeeyongeddemu ebbugumu olw'ensimbi ezibasuubiziddwa

Boxing22web 350x210

Bya Fred Kisekka

EKIBIINA ekiddukanya ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF), kitaddewo kavvu ku buli mudaali ogunaawangulwa abazannyi ba ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’.

Abeebikonde be bamu ku bazannyi ba Uganda abagenda mu mizannyo gya Afrika egitandika nga August 19, mu kibuga Rabat ekya Morocco, gikomekkerezebwe nga August 31.

Moses Muhangi,  pulezidenti wa UBF, yagambye nti buli anaawangula omudaali gwa zaabu waakuweebwa 2,000,000/-,  feeza (1,500,000/-)  ate ow’ekikomo afune 1,000,000/-.

“Twagala abazannyi baffe bazannye ng’emitima gibali wamu, kye tuvudde tubateerawo ebirabo bino,” Muhangi bwe yannyonnyodde.

The Bombers yagendeddemu abazannyi munaana, abasajja mukaaga; Shadir Musa Bwogi, Isaac Masembe, Champion Busingye, Joshua Tukamuheebwa, David Kavuma Ssemujju, Solomon Geko,  n ’abawala babiri; Jalia Nali ne Hellen Bakaleke.

Ttiimu ya The Bombers  mu kkomera e Luzira gy’abadde yakuba enkambi. Wakati mu nkonfiira enzirugavu ye Moses Muhangi. Amuddiridde ku kkono  y’amyuka akulira emizannyo e Luzira ASP Robert Lwanve ne ASP Papus Muhurizi, ow’ensambaggere ne taekwondo.