Abaano b'oku nguudo banabangulwa mu bitone

FUFA ekwataganye ne Gavumenti okuggya abaana ku nguudo okubabangula mu bitone eby'anjawulo

 Abamu ku baana Gavumenti be yasoose okuggya ku nguudo,  nga bazannya omupiira e Njeru

GAVUMENTI ekwataganye ne FUFA ng'ekozesa omupiira egiyambeko okuggya abaana ku nguudo bayambibwe okudda mu bakadde baabwe n'okufuuka abantu ab'omugaso mu ggwanga, nga  bakozesa ebitone.

Enteekateeka eno yatuumiddwa ‘Football in Community', era Gavumenti ng'eyita mu minisitule y'ekikula ky'abantu mwe yakwataganidde ne FUFA, ne batendeka abatendesi 22 abagenda okubangula  abaana abaggyibwa ku nguudo mu bifo eby'enjawulo gye bagenda okutwalibwa.

Omusomo gw'abatendesi gwamaze wiiki nnamba e Njeru ku kitebe kya FUFA ekyebyekikugu nga gwakubiriziddwa abakugu okuva mu kibiina ekiddukanya omupiira mu Bulaaya, ekya UEFA.

Ku nkomerero, y'omusomo waabaddewo  empaka z'omupiira gw'abaana 100 abaasoose okuteekebwa mu nkola eno nga bakuumirwa  Mutundwe mu munisipaali y'e Lubaga.