Aba Ntinda be bannantameggwa mu ludo

By Edward Luyimbazi

Kiraabu ya Ntinda eya Ntinda Market Ludo Club, ewangudde ekikopo kya ludo mu munisipaali y'e Lubaga

Ludowebnew 350x210

ABASUBUZI ba katale k'e Ntinda basitukidde mu kikopo ky’empaka za ludo  ezibadde ziyindira mu munisipaali y’e  Nakawa okumala emyezi 3.

Ntinda Market Ludo Club yakubye ttiimu y’abavubi b’oku mwalo gw’e Luzira, aba Portbell Two Ludo Club,  ku  fayinolo eyazannyiddwa mu katale k’e Nakawa.

Moses Kirumira, omuteesitesi w'empaka zino, yagambye  ttiimu 35  ze zeetabye mu mpaka zino ezibadde zizannyibwa mu mutendera  gwa ligyoni, wansi wa Nakawa District Ludo Association.

Eyawangudde  yaweereddwa ekikopo ne boodi ya ludo,  ate abookubiri  ne baweebwa boodi emu