Bugema erinze Kyambogo mu liigi ya yunivasite

By Moses Kigongo

Yunivasite y'e Bugema ewera kwesasuliza ku y'e Kyambogo

Barcwebweb 350x210

Lwakusatu mu Pepsi University League

Bugema - Kyambogo, e Bombo

TTIIMU ya yunivasite y’e Bugema ezzeemu okusisinkana eya Kyambogo, mu mpaka za Pepsi Universty League, n'ekigendererwa ky’okugyesasuza olw'okugisubya fayinolo ya sizoni ewedde.

Baasoose kusisinkana ku semi sizoni ewedde, Kyambogo n’ewandulamu Bugema ku mugatte gwa ggoolo 3-0.

Omutendesi wa Bugema, Medie Nyanzi, yaweze nga bwe balina okwesasuza Kyambogo olw’okubaswaliza mu maaso g'abawagizi baabwe.

"Abazannyi mbawadde ebiragiro n'obukodyo bwonna era tulinze ffirimbi yokka,"  Nyanzi bwe yategeezezza.

Wabula n'aba Kyambogo bawera kudda mu biwundu bya Bugema, ku luno babasubye okutuuka wadde ku semi.

Ensiike eno ya ‘quarter’ nga yaakuzannyibwa ku kisaawe e Bombo.