Kategula FC yeesunga kusitukira mu Ssemuko Cup

By Musasi wa Bukedde

Ttiimu ya Kategula ewangudde Kibira FC ne yeesogga fayinolo ya Ssemuko Cup era erinze kuttunka ne Black Street FC

Masajjaweb 350x210

 

Bya Joseph Zziwa

Kibira FC 0-3 Kategula FC

TTIIMU ya Kategula olugobye omupiira ogwagitutte ku fayinolo, omutendesi n’awera nga bwe watakyali  ttiimu eyinza kubalemesa kikopo.

Baabadde mu mpaka za Ssemuko Cup ku kisaawe ky’e Masajja, ku Ssande, Kategula n’ewangula Kibira FC ggoolo 3-0.

Kategula yazannye bulungi okuviira ddala mu kitundu ekisooka era gwawumudde egukulembedde 1-0, ate mu kitundu ekyokubiri n’ekiggala, ng’enjogera y’ensangi zino, bwe yateebye ggoolo endala  2.

Ku fayinolo baakuzannya Black Street FC.