Umtiti tamatira Arsenal

By Musasi wa Bukedde

Umtiti agamba nti kuva buto ng'ayagala kuzannyira Barcelona mwali era eby'okuzannyira Arsenal tannakirowoozaako.

Umtiti11 350x210

OMUZIBIZI wa Barcelona, Samuel Umtiti agamba nti tannafuna kirooto kizannyira Arsenal.

Mu katale k’abazannyi akaakaggwa, amawulire gaayiting’ana nti Umtiti yandyegatta ku Arsenal era ne wabaawo abaabijweteka nti Alexandre Lacazette, omuteebi wa Arsenal y’omu ku baali bamuperereza okwegatta ku Arsenal.

Lacazette ne Umtiti, baazannyako bombi mu Lyon era kyali kiteeberezebwa nti baayagala bamukozese asikiriize Umtiti okwegatta ku Arsenal.

Mu kiseera ekyo, Arsenal yali eyigga muzibizi era yakomekkereza eguze David Luiz okuva mu Chelsea.

Wabula Umtiti bwe yabuuziddwa ku nsonga z’okupererezebwa Arsenal yasoose kuseka oluvannyuma n’ategeeza nti tafunanga kirooto kuzannyira Arsenal era talikifuna. “Nakula ndoota kuzannyira Barcelona era sinnafuna kirowoozo kugivaamu,” Umtiti bwe yategeezezza n’ayongerako nti osanga bo baali bamwagala nga ye tamanyi