Bright Stars enoonya wiini

By Ismail Mulangwa

Busoga United, Vipers ze zaasooka okumegga Bright Stars nga tennakola malira na Express. Enkya baagala wiini esooka sizoni eno.

Wakisogiant1 350x210

BUL - Busoga United 10:00

Onduparaka - Vipers 10:00 guli ku TV

Bright Stars - Wakiso Giants 10:30

ENKYA (Lwakusatu), liigi ya Uganda eya ‘StarTimes Uganda Premier League’ lw’eddamu okutogyera ku bisaawe eby’enjawulo.

E Wankulukuku aba Bright Stars gye bagenda okubeera nga bayigga buwanguzi obusooka bukya liigi egyibwako akawuuwo omwezi oguwedde. Bagenda kuttunka ne Wakiso Giants etendekebwa Kefa Kisaala nga bano bali ku ffoomu oluvannyuma lw’okumegga URA ne Tooro United.

 iane sekajugo ku kkono makkati ye sraf andela owa  ngalwanira omupiira ne uncan seninde ku ddyo Viane Ssekajugo ku kkono makkati ye Asraf Mandela owa URA ng'alwanira omupiira ne Duncan Sseninde ku ddyo

 

Bright Stars tennawangulayo mupiira gwonna sizoni eno mipiira esatu gye yakazannya okuli; Busoga United, Vipers bagikuba ate Express bakola nayo maliri. Balina akabonero kamu.

 bazannyi ba right tars Abazannyi ba Bright Stars.

 

Omutendesi wa Bright Stars omujja Muhammad Kisekka eyazze mu bigere bya Fred Kajoba mu kaseera kano ali ku puleesa oy’okufuna obuwanguzi obusooka ku Wakiso Giants eyakeesogga liigi.

 efa isala atendeka akiso Kefa Kisala atendeka Wakiso.

 

Kefa Kisaala atendeka Wakiso awanda muliro nti tagenda kusuula mupiira gwonna kuba ttiimu ye yakoledde oluvannyuma lw’okuwangula emipiira ebiri egy’omudirigana.

“Abazannyi bange abasinga bonna bakomyewo era bali mu mbeera nnungi, omupiira guno tugenda kugukwata bulungi okulaba nga tufuna obuwanguzi,” Kisaala bwe yategeezezza.

Wakiso ekwata kifo kyakuna n’obubonero 6 ate nga Bright Stars y’emu ku zikoobedde.