Buddu ewera kumegga Busiro eddeyo e Namboole

Ttiimu ya Buddu erabudde eya Busiro okugenda e Masaka nga bakimanyi nti baawanguddwa dda mu mpaka z'Amasaza ga Buganda.

 Ssentebe wa Buddu FC, Hajji Ali Matovu, ng'alamusa ku bazannyi

Ssande mu semi y'Amasaza

Buddu- Busiro

Kyaddondo - Bulemeezi  

Nga wabula mbale bazannye semi y'empaka z'Amasaza, Bannabuddu baatandise dda okwepika n'okuwera nga bwe bagenda okumegga Busiro, baddeyo e Namboole gy'ebajja okusitukira mu kikopo kino banaaze ku bawagizi ennaku y'omwaka oguwedde.

Ku fayinolo y'omwaka oguwedde, Buddu yawangulwa Ssingo ggoolo 11-10 eza peneti, oluvannyuma lw'eddakiika 90 okuggwaako nga buli ludda lulina ggoolo emu.

Buddu y'esoose okukyaza Busiro ku Ssande ku kisaawe kya Masaka Recreation Grounds mu luzannya olusooka,  era egemba nti erina okuluwangula esobole okuzannya ogw'okudding'ana nga teri ku puleesa.

Ssentebe w'olukiiko oluddukanya Buddu FC, Hajji Ali Matovu, yategeezezza nti abazannyi batendekeddwa ekimala era bonna bali mu mbeera nnungi, sso nga ttiimu ezannye n'emipiira egyokwegera  okubayamba okwekuumira ku mutindo.

Mu semi endala, Kyaddondo ekyaza Bulemeezi e Mwereerwe, nga buli emu ewera kumegga ginaayo okutaangaaza emikisa gy'okwesogga fayinolo.