Proline esaliddwako obubonero 6.

By Ismail Mulangwa

Okugaana okuzannya ne SC Villa e Lugogo kusazizzaako Proline obubonero 6.

Proline 350x210

Proline FC ezannyira mu liigi ya babinywera eya ‘StarTimes Premier League’ ekiguddeko akakiiko akakwasibwa empisa aka ‘FUFA Competitions Discipinary Panel’ (CDP) bwe kabasazeeko obubonero 6 ne ggoolo 6 oluvannyuma lw’okugaana okuzannya omupiira gwaabwe ne SC Villa ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.

Mu bbaluwa eyayise ku mukuttu gwa FUFA yalaze nti Proline omusango gwagisse muvvi olw’okugaana okugondera amateeka liigi y’eggwanga kwetambulizibwa.

Proline FC bagitanzizza 5,000,000/- ng’era ye ttiimu eyookubiri okusalwako obubonero nga yeegasse ku Police FC etalabikako ku mupiira gwa Onduparaka.

 enerd uwanga ku ddyo ngattunka ne easer khuti ku kkono Benard Muwanga ku ddyo ng'attunka ne Ceaser Okhuti (ku kkono)

 

Ku bubonero obwasaliddwa ku Proline, SC Villa bagiwaddeko busatu ng’era mu kaseera kano yeekulembedde liigi n’obubonero musanvu.

Kigambibwa nti Proline yawandikira FUFA ebbaluwa ng’ebategeeza nga bw’etagenda kuzannya mupiira olw’abazannyi baayo Mustafa Mujuzi ne Bright Anukani abaali ku ttiimu y’eggwanga.