UCU erwana kweggyako kikwa.

By Gerald Kikulwe

Nkya (Lwakutaano), UCU ekyalira Busitema University ku luzannya lwa ‘quarter’olusooka wabula buli ttiimu erina okukyalira ginnaayo okufunako agenda ku Semi z’omwaka guno.

Jamesssemamboowaucungayiribyaabaemmanuelmandelaowaiuea2 350x210

UCU etandika nkya okulwanyisa ekikwa ky’emyaka etaano nga tetuuka ku ‘Semi’ za Pepsi University League okuva lwe baagyegattako mu 2014.

Nkya (Lwakutaano), UCU ekyalira Busitema University ku luzannya lwa ‘quarter’ wabula buli ttiimu erina okukyalira ginnaayo okufunako agenda ku Semi z’omwaka guno.

UCU y’emu ku yunivasite etasubwangako kuva mu kibinja bukya etandika kwetaba mu liigi ya yunivasite wabula emyaka gyonna etaano ebadde ewandukira ku ‘quarter’ nga ku luno eyagala kweggyako kkoligo lino.

Jimmy Kintu atendeka UCU yeesomye ng’omwaka guno bwe bagenda okufiira ku muntu kubanga tebagala kuddamu kuswazibwa.

Dorothy Namugenyi atendeka Busitema agamba nti sizoni bbiri emabega babadde batuuka ku ‘quarter’ naye nga tebasukkawo, kino baagala kikyuke sizoni eno nga batuuka ku semi.

“Omukisa gwe tulina, ffe tusoose okukyaza, tugenda kugukozesa okufuna ggoolo eziwera olwo bwe tunaakyala e Mukono tulwanirire obuwanguzi bwaffe,” Namugenyi bwe yaweze.

Eno sizoni ya 8 nga liigi ya yunivasite ezannyibwa, MUBS ne KU balina ebikopo bibiri buli omu ate MUK, Kyambogo ne UMU buli omu kimu.